Omuyimbi Eddy Kenzo akirizza okusaba kwa Lydia Jazmine okusoose oluvanyuma lwa Rema Namakula okugenda.
Rema mu kiseera kino ali mu bufumbo bwa Dr. Hamzah Ssebunya gwe yayanjula mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka.
Rema bwe yali ng’ali mu bufumbo bwa Kenzo, ebigambo byali byogerwa nti Kenzo ayagala muyimbi munne Jazmine.
Kigambibwa Jazmine yakola kyamaanyi Kenzo okwawukana ne Rema olw’obutakaanya mu maka.
Rema bukya agenda, guno gwe mulundi ogusoose, Kenzo okuvaayo mu lwatu okulaga ensi nti Jazmine yamusabye okumuyamba.

Sabiti eno, Kenzo yawezeza abantu 1,000,000 abamugoberera ku mukutu ogwa U-tube era mu Uganda mu kiseera kino y’omu ku bayimbi abasiinga okugobererwa.
Abamu ku bayimbi abasanyufu olwa Kenzo okuweza abantu 1,000,000 ye Jazmine era amangu ddala yamusindikidde obubaka okumuyozayoza.
Jazmine era yasabye Kenzo okumuyamba okumusabira ku bantu okumugoberera ku mukutu ogwa U-tube kuba omukutu gwe omukadde abafere bagutwala.

Kenzo alaze nti alina omutima omulungi era naye atandikiddewo okusaba abantu okuwagira Jazmine n’okumugoberera ku U-tube era agambye nti, “Asaba awebwa let’s goo“.
