Omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa ng’omuyimbi Bobi Wine avuddeyo ku nsonga z’abayimbi abali mu mbeera mbi mu kiseera kino ekya Kalantini.

Bobi Wine agamba nti ye ng’omubaka asobola okutambula kyokka olwa bannayuganda obutakola bangi bali mu mbeera mbi era Gavumenti erina okwanguyiriza okuwa abantu emmere.

Ku nsonga z’abayimbi, Bobi Wine alabudde abayimbi okujjumbira okutereka ssente okwewala okukaaba mu mbeera nga tewali bivvulu.

Bobi Wine agamba nti abayimbi balina okukomya okwetwala nti banjawulo nnyo kuba bannayuganda bonna bali mu maziga olw’obutakola.

Alabudde abayimbi nti singa bajjumbira okutereka ssente, tewali mbeera yonna eyinza kubanyigiriza.