Libadde Ssanyu gyerere ku ddwaaliro ekkulu e Ntebbe ssaako n’okutendereza Omutonzi, abasawo nga basiibula abantu 10 abakebeddwa nga bawonye Kolona.
Ku basiibuddwa kuliko abaana 5 abayimbi mu kkanisa ya Watoto n’abasomesa baabwe 3 abazuulibwa nga balwadde nga baakadda okuva mu ggwanga erya Bungereza nga baali 11.
Abalala abasiibuddwa kuliko omusajja ng’avuga bodaboda Kasubi n’omulala okuva e Kalangala abaludde nga bali mu ddwaaliro e Ntebbe okufuna obujanjabi.
Omukolo gukulembeddwamu Minisita avunaanyizibwa ku byobulamu ebisookerwako Dr Joyce Moriku Kaducu wakati mu kutendereza Omutonzi.
Ettendo, lyetabiddwamu abasawo, Minisita Kaducu ssaako n’endiga okuva mu kkanisa ya Watoto.
Minisita Kaducu asiimye abasawo abakoze omulimu ogw’enjawulo okulwanyisa Covid-19 n’okubasaba okwongera okwekuuma, okwetangira okulwala.
Uganda mu kiseera kino esigaza abalwadde 17 mu ddwaaliro oluvanyuma lw’okusiibula abalwadde 38 nga bawonye bulungi Kolona.