Omubaka wa Omubaka wa Munisipaali y’e Mityana, Francis Zaake ayolekedde okuvundira mu kkomera oluvanyuma lw’okukwatibwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.

Zaake yakwattiddwa ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye oluvanyuma lw’okutambula nju ku nju okuwa abantu emmere abali mu Kalantini nga betaaga emmere okutaasa obulamu.

Yatambudde ku kyalo Buswabulongo mu ggombolola y’e Busimbi mu Konsituwense y’e Mityana ng’abantu abawa kkiro z’omuceere 2 ne ssukkali nga bisibiddwa mu kaveera ka kiragala.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti Zaake yakwattiddwa, ku misango gy’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga ebiyinza okuvaako, ekirwadde kya Kolona okusasaana.

Enanga mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala enkya ya leeero, agambye nti Zaake okutambula nju ku nju, kyabulabe ekiyinza okutambuza obulwadde nga n’emmere gye yagabidde abantu, eyinza okuba teri ku mutindo.

Mungeri y’emu agambye nti mu kiseera kino Zaake ali ku kitebe kya Poliisi e Kireka, ekikola ku by’okunoonyereza.

Reachel Kawala omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala agamba nti Zaake ali ku misango omuli okugyemera ebiragiro bya Pulezidenti Museveni, okugezaako okutta abantu n’obulagajjavu obuyinza okuvaako okusasaanya obulwadde mu bantu.