Ab’ekibiina kya Red Cross bavuddeyo ku muntu eyaziikiddwa mu disitulikiti y’e Kayunga wakati kwegendereza okwetangira ekirwadde kya Kolona.

Kigambibwa omulambo gwa Daniel Sebuliba myaka 30 gwatuuse mu ggwanga olunnaku olw’eggulo ku kisaawe Entebbe mu nnyonyi etambuza ebyamaguzi era amangu ddala aba Red Cross baayitiddwa.

Omulambo wadde gwabadde guteekeddwa mu Kofini, abakozi ba Red Cross baagibikudde era omulambo ne Kofini byonna babifuuyidde eddagala.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole kya Red cross, Irene Nakasiita, Gavumenti ng’eyitira mu Minisitule y’ebyobulamu yakwasa aba Red Cross omulimu gw’okuziika abantu bonna abanaafa ekirwadde kya Kolona oba abayinza okufa obulwadde obwefananyirizaako obwa Kolona.

Nakasiita agamba nti Sebuliba yafiiridde mu kibuga Doha mu ggwanga erya Qatar, teyafudde Kolona wadde yaziikiddwa wakati mu bwerinde ng’abakozi baabwe bonna beesabise bulungi omubiri gwonna.

Agamba nti Sebuliba yagudde mu kinaabiro ng’anaaba oluvannyuma naafa era y’emu ku nsonga lwaki yakomezeddwawo.

Nakasiita bw’abadde awayamu naffe agambye nti Sebuliba okufiira mu ggwanga erya Qatar nga bangi ku bannansi bali mu kufa lwa Kolona n’omulambo gwe okutwalibwako mu kibuga Dubai mu ggwanga erya United Arab Emirates awali abalwadde ba ‘Corona Virus’, y’emu ku nsonga lwaki Minisitule y’ebyobulamu yafunye okutya n’okulemesa ab’enganda z’omugenzi okusemberera omulambo.

Ku nsonga y’okutangira Kolona okusasaana, Nakasiita agamba nti y’emu ku nsonga lwaki Gavumenti yawadde aba Red Cross omulimu gw’okuziika Sebuliba.

Okuziika Sebuliba, aba Red Cross bakulembeddwamu kaminsona okuva mu Minisitule y’ebyobulamu, eyabakulembeddemu okubatwala ku Poliisi y’e Naggalama era omulambo gwagiddwa mu kimu ku kibiina ekikola ku by’okuziika.

Minisita omubeezi ow’ebyobulamu Robinah Nabbanja agaanye okukwata essimu ye okulambulula ku nsonga y’okuziika Sebuliba.

Ate Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti abadde mitingi nga tasobola kwogera naffe era atulagidde okwebuuza ku kitongole kya Red Cross.

Kinnajjukirwa nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bwe yali ayogerako eri eggwanga sabiti akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande nga 19, April, 2020, yategeeza nti Uganda tegeenda kukirizza kukomyawo mulambo gwonna ogw’omuntu afudde Kolona kuba kiyinza okusasaanya obulwadde.

Ate ku nsonga y’abantu abafudde obulwadde obulala nga Sebuliba, tekimanyiddwa oba kikirizibwa okubakomyawo mu Uganda ku nnyonyi ezitambuza ebyamaguzi.

Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 19 mu ddwaaliro abalina Kolona oluvanyuma lw’okusiibula abantu 38 nga bawonye bulungi ekirwadde kya Kolona mu ddwaaliro e Mulago, Entebbe ne Hoima.

Eddoboozi lya Nakasiita