Omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool awadde bannayuganda essannyu, naye bw’avuddeyo obuyambi okuyamba ku bantu abali mu bwetaavu mu kiseera kino ekya Kolona.

Bebe Cool akwasizza Minisitule y’ebyobulamu ensawo 900 ez’akawunga n’ebijanjalo okuyamba balwadde bakafuba abali ku ddagala ery’amaanyi, bannamawulire ssaako ne ba DJ.

Ensawo 500 z’abalwadde aba kafuba, 200 ziwereddwa ba DJ ssaako ne bannamawulire ensawo 200.

Bebe Cool, agamba nti ba DJ bakola kyamaanyi mu kutumbula ekisaawe ky’okuyimba ate bannamawulire, okutegeeza abantu ebigenda mu maaso mu ggwanga nga mu kaseera kano, betaaga okuyambibwa.

Mungeri y’emu akoowodde abantu bonna n’okusingira ddala abayimbi okuvaayo okuyamba abantu mu kiseera kino abayagga nga banoonya eky’okulya.

Ku lwa ba DJ, DJ. Nimrod omukozi ku 100.2 Galaxy FM, asiimye okubaduukirira era asuubiza okulaga obwerufu mu kunoonya ba DJ banne abali mu bwetaavu okufuna emmere.

Ate Pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannamawulire ekya Uganda Journalist Association (UJA) Hajji Kazibwe Bashir Mbaziira, akoowodde abantu bonna abalina obusoobozi okuvaayo mu kiseera kino, okuddukirira abantu okusinga okulinda okweraga.

Obuyambi bukwasiddwa Minisita w’ebyobulamu Dr.Jane Ruth Aceng era mu kwogera kwe alabudde abantu okwongera okwekuuma kuba Kolona, ayolekedde okutta abantu mu Africa singa tebongera kwekuuma.