Kkooti enkulu mu Kampala efulumizza ekiwandiiko ekiyimiriza Palamenti okwegabanya Biriyoni 10, mu ntekateeka yaabwe ey’okuyambako okutangira Kolona okusasaana.

Ekiwandiiko, kifulumiziddwa omulamuzi Esta Nambayo oluvanyuma lw’omubaka we Ntungamo Gerald Karuhanga ne Jonathan Odur akikirira abantu be Erute South, okuddukira mu kkooti akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga bemulugunya ku ngeri Palamenti, gye yatuuse ku nsonga ensimbi ezo n’okuwa buli mubaka.

Ku biriyoni 10, buli mubaka wa Palamenti alina okufunako obukadde 20 okuzeyambisa okusomesa abantu okwetangira Kolona mu Konsituwense zaabwe ssaako n’okuyamba abantu abali mu bwetaavu omuli okutambuza abalwadde abetaaga obujanjabi.

Wabula kkooti eyimirizza eky’okugabanya ensimbi ezo, okutuusa ng’omusango gusaliddwa.

Biriyoni 10 zezimu kwezo Biriyoni 304 ezaayisibwa Palamenti okuyambako mu kulwakunyisa Colona Virus mu Uganda.