Poliisi y’e Kabale ekutte abantu basatu (3) ku by’okusangibwa n’ebintu ebiteeberezebwa okuba ebibbe.
Abakwattiddwa kuliko Kamukama Onesmus ali mu gy’obukulu 18 nga mutuuze ku kyalo Rushaki cell, Twinamasiko Bright myaka 21 okuva ku kyalo Nyakijumba ne Twongyirwe Ronald myaka 20 omutuuze ku kyalo Mwibale mu Minisipaali y’e Kabale.

Abakwate basaangiddwa n’ebintu eby’enjawulo omuli Kompyuta, baatule y’emmotoka, engoye empya omuli ez’abasajja, abakyala ssaako n’abaana, engato, emifaliso, amasepiki, enkoko ssaako n’ebintu ebirala.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, abakwate baludde nga benyigira mu kumenya amayumba ssaako n’amaduuka, okutuusa Poliisi weyakozze ekikwekweeto.