Kkooti enkulu mu Kampala wansi w’Omulamuzi Easter Nambayo eragidde Ssabawaabi wa Gavumenti, okuleeta mu kkooti mu bwangu abakuumi ba munnamaggye eyaganyuka Lt Gen Henry Tumukunde nga balamu oba nga bafu.

Omulamuzi okulagira, kiddiridde bannamateeka ba bantu abakwattibwa, nga bakulembeddwamu Antony Wameri okuddukira mu kkooti nga beekubira enduulu olw’abantu baabwe okwattibwa nga 12, omwezi oguwedde Ogwokusatu kyokka bukya bakwattibwa, tebatwalibwanga mu kkooti.

Bannamateeka bagamba nti abasibe okubakuumira ku poliisi bukya bakwattibwa, kityoboola eddembe lyabwe, ekintu ekimenya amateeka.

Ensonga z’abannamateeka, omulamuzi kw’asinzidde okulagira Ssabawaabi wa Gavumenti okuleeta abakuumi bombi okuli Okello Denis ne Labeja Ongom Charles sabiti ejja ku Lwokusatu nga 29, omwezi guno Ogwokuna.

Abakuumi aboogerwako baakwatibwa nga 12, omwezi oguwedde Ogwokusatu, ebitongole ebikuuma ddembe we byali bikwata mukama waabwe Gen. Tumukunde okuva mu maka ge e Kololo.

Mukama waabwe Tumukunde ali ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okulya mu nsi olukwe n’okusangibwa n’ebyokulwanyisa omuli emmundu n’amasasi mu ngeri emenya amateeka.

Nga 18, Omwezi oguwedde Ogwokusatu, n’abantu abalala, abaali bakwattiddwa ne Tumukunde batwalibwa mu kkooti e Nakawa ne baggulwako omusango gw’okulemesa ebitongole ebikuuma okukola emirimu wabwe kyokka oluvanyuma bakkirizibwa okweyimirirwa.

Gen. Tumukunde y’omu ku bannayuganda abasukka 20 abegwanyiza entebe y’obukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021.