Poliisi mu Kampala ekutte abantu 480 olw’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga eby’okulwanyisa Corona Virus mu ggwanga.
Mu kikwekweeto ekyetabiddwamu ebitongole eby’enjawulo nga kikulembeddwamu addumira Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Moses Kafeero, kikoleddwa mu bitundu eby’enjawulo omuli Nakulabye, Kasubi, Namungona, Kawempe, Maganjo, Nansana, Masitowa, Lubigi, Kisasi, Kyanja, Mutungo, Banda, Kireka ssaako ne Kinawataka.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwate basangiddwa nga batambula mu ssaawa za Kafyu, mu bbaala nga bali mu kunywa, abamu nga baguddewo amaduuka mu ssaawa za Kafyu ssaako n’okutunda enjaga.
Onyango agamba nti Poliisi etandiise okubanoonyerezaako ku misango gy’okutunda ebintu omuli enjaga, okugyemera amateeka ssaako n’obulagajjavu ekiyinza okubasiiga obulwadde era mu kiseera kino bakuumibwa ku Poliisi ez’enjawulo mu Kampala.