Ssenga Kawomera olunnaku olwaleero awadde abasajja amagezi ku ngeri y’okulaba omukyala ayagala akaboozi oba ayoya okusinda omukwano.
Okwambala kookoonyo. Ssenga Kawomera agamba nti abakyala abamu batya okugamba abasajja nti betaaga akaboozi kyokka okwambalira omusajja akagoye ka kookoonyo, sigino eraga nti ayoya kaboozi.
Mungeri y’emu agamba nti omukyala asobola okuteekawo emboozi ezimuleetera obwagazi era gwe ng’omusajja olina okutereera mu layini okusoma embeera.
Ssenga Kawomera era agamba nti waliwo abakyala abalina ekitone ky’okweyambisa amabeere, emimwa, ebigere, amaaso n’ebirala okulaga nti ayoya akaboozi era omusajja alina okutegeera obulungi omukyala gw’alina.
Ssenga Kawomera era agamba nti mu kisenge, waliwo abakyala abasobola okumweyambulira nga talina kyakunyeze kuba kiyambako nnyo okuleeta obwagazi bw’omusajja bw’aba ategeera okusoma sigino.
Akamwenyumwenyu. Waliwo abakyala nga bakya okusaba akaboozi kyokka okweyambisa akamwenyumwenyu kibayamba okulaga bb anti yetaaga omukwano.
Ssenga Kawomera era abikudde ekyama nti waliwo abakyala abayinza okuteekawo embeera y’okuweereza obubaka bw’omukwano. Ekyo kiraga nti akwetaaga mu bwangu era akuyoya.
Waliwo abakyala nga bayita mu nnyimba okusaba akaboozi. Ssenga Kawomera alabudde abasajja abali mu Kalantini mu kiseera kino, okufaayo okutegeera mukyala we kuba singa kigaana, omukwano guyinza okusaanawo.