Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni alabudde bannayuganda obutakirizza kuddamu Kugikwatako, mu kiseera kino eky’okutangira Kolona okusasaana.
Museveni agamba nti baddereeva abatambuza ebyamaguzi, abantu balina okubeewala okutangira obulwadde oluvanyuma lw’okuzuula abantu 11 nga bonna balwadde ba Kolona okuli bannansi ba Tanzania 6 ne bannansi ba Kenya 5 ate nga bonna baddereeva.
Agamba nti mu kiseera kino, waliwo bannayuganda abesuunga okukyaza baddereeva nga batuuse mu Uganda kyokka olwa Kolona, tebalina kukirizza kubakwatako wadde okubesembereza.
Mungeri y’emu abikudde ekyama nti abakugu, bali mu kunoonya ddagala lya Kolona kyokka mu kiseera kino, okwetangira obulwadde kisinga byonna.

Muzeeyi Museveni asinzidde ku kisaawe e Kololo bw’abadde awaayo emmotoka kapyata 45 ezaweebwayo abazirakisa, ziyambeko okulwanyisa ekirwadde ki Covid-19.
Asiimye abantu bonna, abawaddeyo okuddukirira omuli n’emmere.
Mungeri y’emu akuutidde amalwaliro agafunye emmotoka okuli eddwaaliro ekkulu e Ntebbe, Hoima, Kiruddu ssaako n’amalala obutazikozesa kulya masaali wabula okuzeyambisa mu kuweereza abantu.