Omuyimbi Rema Namakula alaze lwaki tayinza kwejjusa kusuulawo Eddy Kenzo wadde yali Sereebu mu kisaawe ky’okuyimba.
Ku lunnaku Olwokutaano, Rema yabadde ajjaguza amazaalibwa ge okuweza emyaka 29 era wadde eggwanga lyonna abantu bali mu Kalantini, bba Dr. Hamzah Ssebunya yamukoledde akabaga okusanyuka nga Famire.

Rema alaze ebifaananyi nga yabadde liisa bba Dr. Ssebunya Keeki wakati mu laavu mu ngeri y’okulumya eyali bba Kenzo kuba ye yalemwa.

Dr. Ssebunya bamwanjula mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka era mu kiseera kino ali mu laavu ne Rema oluvanyuma lw’okumubba ku Kenzo.