Munnamawulire wa NTV, Faridah Nakazibwe alaze nti essaawa yonna agenda kuzaalira omusajja abalongo era naye yesuunga kufuna linnya lya Nnalongo.
Nakazibwe alaze nti musanyufu nnyo kuba yafunye olubuto lw’abalongo era n’okutambula, atambula akutte ku lubuto okuwuliza abaana embeera gye balimu.

Nakazibwe ng’akutte ku lubuto agambye nti, “Awo Abalongo nga bagamba….’mummy, think about us abali mu lubuto and find something to eat“.
Ng’omukyala omulala yenna, Nakazibwe alina okuba mu ssannyu kuba okufuna abalongo sikyangu kyokka ayinza okuba ng’ali mu bya ‘kwesudiya’ era omu ku bagoberezi be ku mukutu ogwa Instagram Kaweesa Cryru simumativu era abuusabuusa olubuto lwa Nakazimbwe era agambye nti “Faridah nga wabajjewa mu quaratine eno“.
Nakazibwe yazaalibwa nga 18, August, 1984 era ku myaka 35 mukyala muzadde nga n’omwaka oguwedde ogwa 2019, omu ku baana be yatuula ekibiina eky’omusanvu.