Poliisi efulumizza alipoota ya sabiti ewedde, eraga nti baakwata abantu 1150 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ku by’okugyemera ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga eby’okutangira Kolona okusasaana.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abamu ku baakwattibwa, batwalibwa mu kkooti ne basindikibwa ku limanda mu kkomera e Kitalya mu disitulikiti y’e Wakiso.
Ate mu bitundu bye Elegu ku nsalo ya Uganda ne South Sudan, Poliisi egamba nti waliwo bannansi ba Kenya 22 abakwattiddwa nga baasangiddwa mu loogi.
Enanga agamba nti ebikolwa eby’okusangibwa mu loogi, biyinza okutambuza obulwadde era y’emu ku nsonga lwaki bannansi ba Kenya baakwattiddwa.
Ate mu bitundu bye Butambala n’empigi, Poliisi ekutte abantu 2 ku by’okusala ensalo nga bayita mu Panya, okutunda amayirungi mu ggwanga erya South Sudan.
Enanga agamba nti abakwate baludde nga batambula kiro, okutwala emmaali yaabwe eya Mayirungi wakati w’essaawa 8 ne 12 nga bayita mu bitundu bye Nimule, ekiyinza okutambuza obulwadde.
Ate omwogezi w’ekitongole ky’amakkomera Frank Baine, agambye nti olw’emputtu ya bannayuganda, bukya Kalantini erangirirwa ne Kafyu, yakafuna abasibe 2241.
Abasibe abali ku limanda bali 1970 ng’abasibe 271 baabasalira.
Baine alabudde bannayuganda abagyemere ebiragiro omuli okutambula mu ssaawa za Kafyu nti amakkomera gakyali maggule okubaaniriza.