Abalwadde ku ddwaaliro ekkulu e Mulago bakyasobeddwa ku ngeri gye bayinza okudda awaka oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuyimiriza entambula y’olukale ssaako ne z’obwannanyini, ng’emu ku ngeri y’okutangira Kolona, okusasaana.
Pulezidenti Museveni, yategeeza nti abantu bonna abaagala okweyambisa emmotoka zaabwe okutambula, balina okufuna olukusa okuva ku RDC mu bitundu byabwe, ekyongedde okuzibuwaza embeera ku balwadde abetaaga okutambula okuva e Mulago okudda awaka.
Okusinzira ku Godfrey Sebulime, agamba nti sabiti ewedde ku Mmande, yava mu disitulikiti y’e Gomba oluvanyuma lwa muganda we Paul Lugesera okumenyeka embirizi.
Sebulime agamba nti yasaba okudda mu ddwaaliro e Gomba okusigala ng’ali kumpi n’awaka kyokka ssente ezimuza Gomba zikyabuse okufuna emmotoka okumutwala.

Ate Viola Namugabo ng’ali mu kujanjaba mulwadde wa Kansa agamba nti yava Kasanje nga 6, omwezi guno Ogwokuna, era baamusiibula n’omulwadde we nga balina okudda mu ddwaaliro oluvanyuma lw’omwezi kyokka engeri y’okudda awaka, ekyabalemesezza, ekibakuumidde mu mbeera embi ku ddwaaliro e Mulago.
Ate omukyala Robina Nandutu ne muwala we Esther Nandutu agamba nti baava mu disitulikiti y’e Mbale era ku ddwaaliro e Mulago baakamalayo sabiti mukaaga (6).
Nandutu agamba nti mu ddwaaliro alina okudda mu Gwokutaano kyokka olw’okuyimiriza entambula y’olukale, talina ngeri yonna yakudda waka.
Ku nsonga eyo, akulira eddwaaliro lye Mulago Dr Byarugaba Baterana agamba nti ensonga y’abantu abasiibuddwa ne basigala ku ddwaaliro okweyongera obungi abadde tagisuubira kuba eddwaaliro lisobodde okuyamba abantu bangi okudda awaka.
Dr. Baterana asuubiza okuyambako, abalwadde okudda buli omu gye yava.