Kyaddaki Minisita omubeezi ow’ebyensimbi, David Bahati alaze nti naye tanyigirwa mu nnoga ku nsonga ya bannayuganda abali amaka agatemya ng’omutu.

Kigambibwa Minisita Bahati abadde azimba enju amatiribona ku kyalo Kakomo, e Mwendo mu ggombolola y’e Kitumba mu konsituwensi y’e Ndorwa west gy’akikirira mu Palamenti okumala emyaka 3.

Bahati yazaalibwa nga 8, June, 1973, alina emyaka 46 era abadde Minisita omubeezi ow’ebyensimbi okuva nga 1, March, 2015.

Kigambibwa ennyumba ettudde ku bugazi bwa yiika emu n’ekitundu era kigambibwa yagimaliddeko ssente ezikunukiriza mu buwumbi bubiri.

Enju ya Minisita Bahati y’emu kwezo ezirabika obulungi mu Uganda wadde ey’omugagga Hamis Kiggundu ekyasingira ddala.

Ebifaananyi bya Bigeye