Poliisi y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso ekutte emmotoka ya Ambulensi olwa ddereeva okugyembisa okutambuza abantu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Ambulenzi ekika kya Toyota Land cruiser namba UAX 366M okuva mu kampuni ekola ku by’okuziika eya Jambo funeral Services, eteekeddwa kutambuza mirambo gyokka ddereeva, abadde atambulizaamu abasaabaze.

Enanga agamba nti ddereeva yagaanye okuyimirira nga yeefudde atwala omulambo kyokka Poliisi bwe yamugobye nemukwata, mu Ambulensi mwasangiddwamu ssanduko y’omufu nga temuli mulambo ssaako n’abasaabaze mukaaga (6) nga beefudde abafiiriddwa.

Enanga agamba nti ddereeva yeesimatudde ku basirikale era yadduse kyokka Ambulensi eri ku Poliisi y’e Kasangati.