Omubaka w’ ekibuga ky’ e Mityana Francis Zaake atwaliddwa mu kkooti e Mityana, okumusomera emisango egimuvunaanibwa.
Zaake yakwatibwa sabiti ewedde ku Ssande okuva mu makaage ku kyalo Buswabulongo, Mityana ebitongole ebikuuma ddembe okwali Poliisi n’amaggye oluvanyuma lw’okugabira abantu emmere mu konsituwensi ye.

Oluvanyuma lw’okukwattibwa, yaggulwako emisango 3 omuli okugyemera ebiragiro bya Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eby’okuyimiriza abantu bonna okugabira abantu emmere kuba kiyinza okusasaanya ekirwadde kya Kolona.

o Emisango emirala kuliko okugezaako okutta abantu n’obulagajjavu obuyinza okuvaako okusasaanya obulwadde mu bantu.

Olunnaku olwaleero, bannamateeka be, bakedde mu kkooti ento e Nakawa okusaba omulamuzi Ruth Nabasa Zaake okuyimbulwa oluvanyuma lw’okusukka essaawa 48 mu kaduukulu ka Poliisi nga tatwaliddwa mu kkooti.

Wabula Poliisi ekedde kutwala Zaake mu kkooti e Mityana mu maaso g’omulamuzi Erias Kakooza okuva mu ddwaaliro e Naguru era bamutwalidde ku katanda.