Kyaddaki edwaaliro Entebbe lisibudde omukyala eyali omulwadde wa Covid-19 eyazaalira mu ddwaaliro wakati mu kufuna obujanjabi omwezi oguwedde.
Omukyala Joan Nambooze, agamba nti obulwadde yabujja ku bba Francis Mugenyi eyali yakava mu kibuga Dubai.
Nambooze ne bba basiibuddwa okuva mu ddwaaliro Entebbe oluvanyuma lw’okuwona Kolona ate ye omwana wabwe, akebeddwa ng’ali mu mbeera nungi.

Olunnaku olwaleero, abasawo basiibudde abalwadde bataano (5), 3 okuva ku ddwaaliro Entebe ate 2 ku ddwaaliro e Mulago.
Uganda ewezezza abantu 52 abasiibuddwa mu ddwaaliro nga bawonye kolona ku 79 abakazuulibwa nga balwadde.