Ddereeva munnansi wa Kenya afiiridde mu ddwaaliro lya St. Mary’s Hospital Lacor mu disitulikiti y’e Gulu oluvanyuma lw’okuweebwa ekitanda ng’alina obubonero bw’abantu abalwadde ba Corona Virus.

Ddereeva myaka 59 yatwaliddwa mu ddwaaliro ku lunnaku Olwomukaaga okuva ku nsalo ye Elegu mu disitulikiti y’e Amuru.

Okusinzira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa eddwaaliro, Ddereeva yatuusibwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi, kwekumutwala mu kasenge ek’enjawulo kuba yabadde alina obubonero bw’abalwadde ba Kolona.

Ddereeva yafudde n’omuwala myaka 18 nga naye yabadde ali mu kasenge ak’enjawulo. Omuwala yatwaliddwa mu ddwaaliro lya Lacor okuva mu ddwaaliro lya Abee mu disitulikiti y’e Oyam nga yabadde alina obuzibu bw’okusa.

Dr. Paska Apiyo, akulira okulwanyisa Kolona mu disitulikiti y’e Gulu mu Gulu District COVID -19 Taskforce agambye nti emirambo gyombi, gikuumibwa mu ggwanika mu kiseera kino.

Mungeri y’emu agambye nti ‘sampo’ ezagiddwa ku mirambo zasindikiddwa ku Uganda Virus Research Institute okuzekebejja era balinze ebinaava mu musaayi.

Eddwaaliro ekkulu erye Gulu lyalondebwa okukuumirayo abantu bonna n’abalwadde ba Kolona.

Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 79 nga kuliko bannansi baddereeva bannansi ba Kenya ne Tanzania.