Omuyimbi Winnie Nwagi alaze lwaki bangi ku basajja mu ggwanga Uganda ne Africa bamuyaayanira mu kaboozi nga bagamba nti ategeera ensonga z’omu Kisenge.

Mu Uganda, Nwagi y’omu ku bayimbi abakyala abategeera okukyusa ekiwato ku siteegi, vidiyo n’emikutu gya yintanenti, ekimufudde omuyimbi ow’enjawulo n’okufuna abawagizi n’okusingira ddala abasajja.

Olunnaku olwaleero, attadde vidiyo ku mukutu ogwa Instagram ku luyimba lwa Fik Fameica ‘Muko” era ayongedde okulaga nti ategeera kye bayita okulya Dansi.

Wabula mu ngeri y’okulaga nti mukyala wanjawulo, abadde ayambadde obutiiti.
Mu Buganda, obutiiti bulina omugaso ogw’amaanyi mu kisenge kyokka tekimanyiddwa lwaki Nwagi abadde abutadde mu kiwato obudde bw’emisana.

Obutiiti buyambako okunyonyogera omusajja mu kaboozi, ekiyinza okwongera ebinonogo mu kisenge n’okwongera essannyu mu kazannyo.

Vidiyo