Nga Gavumenti ekyanoonya engeri y’okutangira Kolona okusasaana, nate Poliisi ekutte abakyala 18 abasamba ogw’ensimbi ku misango gy’okugyemera omukulembeze w’eggwanga, ekiyinza okutambuza obulwadde.

Abakwate bagiddwa mu Tawuni Kanso y’e Kamdini mu disitulikiti y’e Oyam mu kikwekweeto ekyakoleddwa abakulembeze ku kyalo, abakwate ne bakwasibwa Poliisi.

Abakulembeze bagamba nti abakyala abakwattiddwa, balina ennamba n’essimu ez’abasajja ab’enjawulo, bakasitoma abagula Omukwano omuli ne baddereeva abatambuza ebyamaguzi, ekiyinza okusasaanya Kolona.

Uganda yakafuna baddereeva abasukka 20 nga balina Kolona okuli bannansi ba Kenya ne Tanzania, nga waliwo okutya nti abakyala abalenga omukwano, waliwo abalemeddeko okusigala nga balenga akaboozi, ekintu ekiyinza okubalwaza ssaako n’okusiiga abalala.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye North Kyoga Michael Odongo, abakyala abakwattiddwa, emirimu bagitambuliza mu nju zaabwe okukyaza baddereeva okubaguza omukwano, ekintu ekiyinza okutambuza obulwadde.

Abakwattiddwa essaawa yonna, baakubatwala mu kkooti.