Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kabakazi mu ggombolola y’e Kakooge mu disitulikiti y’e Nakasongola, abantu 3 mu famire emu, webasangiddwa nga bafudde ate nga omukyala ali mu mbeera mbi.
Abafudde kuliko ssemaka Peter Lujja, 27 n’abaana Edrine Kavuma, 7 ne Susan Nalujja myaka 2.
Emirambo, gisangiddwa mu nimiro mu ttenti gya baludde nga basulamu, oluvanyuma lw’okupangisibwa omugagga Stephen Kabwende okumulimirako.
Omukyala Mary Nanyombi myaka 23, asangiddwa ng’ali mu mbeera era atwaliddwa mu ddwaaliro e Nakasongola nga tamanyi biri ku nsi.
Kigambibwa, famire yandibanga yalidde butwa wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, Isah Ssemwogerere agambye nti okunoonyereza ku kivuddeko abantu 3 okufa kutandikiddewo.