RDC we Jinja Eric Sakwa ayimbuddwa omulamuzi wa kkooti esokerwako e Jinja Jessica Chemeri kakalu ka kkooti.

Sakwa ali ku misango esatu (3) omuli okwonoona ebintu, obubbi ssaako n’okuviirako omuntu okufa bwe yali ateeka mu nkola ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga eby’okutangira Corona Virus okusasaana.

Sabiti ewedde ku Lwokutaano nga 24, omwezi guno Ogwokuna, omulamuzi Ann Kobusingye yamusindika ku limanda mu kkomera e Kirinya okutuusa nga 13, omwezi ogujja Ogwokutaano.

Enkya ya leero, Omulamuzi Chemeri asinzidde ku nkola eya ‘video conferencing’ okuyimbula RDC Sakwa abadde ali mu kagguli mu kkomera e Kirinya, nga kikoleddwa okutangira abantu okungana, ekiyinza okusasaanya Kolona.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, wakati wa 22, omwezi oguwedde Ogwokusatu ne 17 omwezi guno Ogwokuna, ku kyalo Lwadda mu disitulikiti y’e Jinja, RDC Sakwa ne banne okuli Mohammed Simba amanyikiddwa nga Meddie ne Bazimbyewa Bumali baavirako Charles Isanga okufa oluvanyuma lw’okumutulugunya ng’ali mu kaduuka ke.

Kigambibwa baatwala kuleeti 3 eza bbiya, ttule z’amagi 8, Ssooda ssaako n’ebintu ebirala nga biri mitwalo 40.

Alipoota y’abasawo eraga nti Isanga yafa olw’okumutulugunya.