Omukozi ku 100.2 Galaxy FM, DJ. Nimrod alabudde ku bulabe, obuyinza okusasaanya Kolona mu ggwanga nga kivudde ku mugoteko gw’abantu abakwattiddwa abakyali mikono gya Poliisi mu buduukulu obw’enjawulo
Nimrod yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, bwe yasangiddwa Poliisi ng’ali mu kuwa abantu emmere mu bitundu bye Makindye nga bakung’anye, ekintu ekiyinza okutambuza obulwadde.
Nimrod, yatwaliddwa ku Poliisi y’e Katwe era yakulungudde mu kaduukulu wakati w’essaawa 2 ku 3, era Poliisi yamuyimbudde ku Bondi.
Wabula agamba nti olwa Poliisi, okuleeta abantu ab’enjawulo abavudde mu bitundu eby’enjawulo n’omugoteko oguli mu kaduukulu, ekiyinza okutambuza obulwadde.
Mungeri y’emu alabudde nti mu kkomera singa otwalibwayo, olina okubaamu n’akasente, okwewala okutimpulwa n’okufuna ekitiibwa nga wakatuuka mu kkomera.
Nimrod era agambye nti mu kaduukulu ka Poliisi e Katwe, akasu akali munda sikalungi ate mulimu n’obuntu, obulumaluma nga kigambibwa nsekere obutambula omubiri gwonna, obuyinza okulemesa omuntu yenna okuwumulako.