Poliisi ekutte 9 ku by’okubba e Wakiso, mukama waabwe attiddwa mu bukambwe
Poliisi ekutte abantu mwenda (9) nga bonna basajja, abagambibwa okwenyigira mu kubba abatuuze ku kyalo Bulamu mu Tawuni Kanso y’e Kasaganti mu disitulikiti y’e Wakiso.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, ekikwekweeto kyakoleddwa oluvanyuma lwa Poliisi okutta Jamil Muwonge abadde amanyikiddwa nga South Pole.
Muwonge y’omu ku babbi, abali mu kabinja ka B-13 era yakubiddwa amasasi bwe yasangiddwa Poliisi ng’ali ne banne, batekateeka engeri gye bagenda okubba.
Onyango agamba nti oluvanyuma lw’okutta Muwonge, Poliisi yakoze ekikwekweeto mwe yakwatidde abantu 9 omuli Bisaso Brain omukulembeze waabwe.

Abalala kuliko Kabagambe Andrew, Muyombya Jackson, Kakooza John Bosco, Fred Yiga, Kibalama Sameul amanyikiddwa nga Pallaso n’abalala era mu kiseera kino bali ku Poliisi y’e Kasangati ku misango gy’obubbi.
Poliisi egamba nti ababbi abakwattiddwa, kiteeberezebwa nti nga 19, omwezi guno Ogwokuna, bebalumba ssemaka Kasiima Jamil omutuuze mu Zzooni y’e Seeta, e Kasangati ne Hajji Jafaari okubba era Poliisi etandiise okunoonyereza.
Onyango agamba nti akabinja ka B-13 kalimu ababbi abasukka 15 kyokka oluvanyuma lw’okukwatako abantu 9 ssaako n’omu okuttibwa, waliwo abakyaliira ku nsiko abali mu kunoonyezebwa.