Omukyala Racheal Nafula myaka 23, yekumyeko omuliro okwetta olwa bba, okumulangira obwenzi.
Nafula nga mutuuze ku kyalo Wakisi mu Monicipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe, asangiddwa mu ddwaaliro lya Wakisi ng’ali mu mbeera mbi nga yenna ayidde omubiri gwonna okuva ku mutwe okudda wansi.
Agamba nti bba yakamuzaalira abaana 3 kyokka abadde asukkiridde okumulangira obwenzi n’ n’okubusabuusa omu ku baana nga y’emu ku nsonga lwaki yekumyeko omuliro okwetta.
Nafula wakati mu kulukusa amaziga, era agambye nti bba Paul Balikuba, abadde asukkiridde okumukuba nga kivudde ku butakaanya mu maka, obutamwesiga nga abadde alina okwetta.
Ssentebbe w’ekyalo Hamidu Mulopi, agambye nti Nafula ne bba, baludde nga balina obutakaanya nga kivudde ku butesigangana kyokka yewunyiza omukyala okwagala okwetta.
Wabula wadde Nafula ali mu ddwaaliro, ali mu mikono gya Poliisi nga ku Poliisi y’e Wakisi aguddwako omusango okwagala okwetta, era okunoonyereza kutandise.