Omukulembeze w’eggwanga erya Tanzania John Magufuli agumizza bannansi okusigala nga bakola newankubadde eggwanga liri mu kulwanyisa Kolona obutasasaana.

Magufuli agamba nti Kolona tayinza kulemesa bannansi kunoonya ssente wabula balina okujjumbira okusabira eggwanga lyabwe.

Agamba nti newankubadde Kolona, abalemesezza okujjaguza olunnaku lwa bakozi, abakozi bonna mu ggwanga mu Tanzania, balina okusigala ku mirimu gyabwe.

Mungeri y’emu abakubiriza abantu, okwongera okuteeka mu nkola ebiragiro bya Minisitule y’ebyobulamu, omuli okwambala masiki mu ffeesi, okwewa amabanga  n’engeri endala.

Tanzania erina abalwadde 480 nga yakafiisa abantu 16, abalwadde 167 basiibuddwa ate 297 bakyali malwaliro, nga 7 bali mu mbeera mbi.

Ate mu Kenya, olunnaku olwaleero, bawezezza abalwadde 411 oluvanyuma lw’okuzuula abalwadde abalala 15, yakafiisa abantu 21, olunnaku olwaleero bafudde 4.