Anita Fabiola alaze nti akooye okumuliira ku bbanja wadde mu kiseera kino ensi yonna eri ku bwerinde olwa Kolona ng’abantu mu nsi ez’enjawulo bali mu Kalantini.
Fabiola ali mu laavu ne Mark Ronald era kigambibwa bali mu ntekateeka kuzaalayo ku mwana.

Fabiola mu ngeri y’okulaga nti talina muzannyo ku nsonga z’omusajja, alaze nti yaguze embwa enkambwe okubanja embaga kuba kirabika akooye okumuliira ku bbanja n’okukuuma omusajja ku bawala abalala abayinza okumutwala.

Fabiola mu kiseera kino talina mulimu gumanyiddwa wabula yasigaliza kuba mu laavu ne Mark.
Agamba nti yazaalibwa nga 7, June, 1994 gy’emyaka 25 ate bba Mark kigambibwa yinginiya mu America era yafuna dda obutuuze.