Omwana Mawanda Rashidah myaka 12 alaze lwaki munnamawulire Faridah Nakazibwe obwa NTV mukyala wanjawulo mu Uganda era y’omu ku bantu beyegomba.
Mu kiseera kino ng’abaana bali waka olwa Kolona, Rashidah nga muyizi ku Grand Salai Junior School, Kasubi anokoddeyo ebintu 10 ebifudde Nakazibwe ow’enjawulo ku balala.
Agamba nti Nakazibwe mukyala muyonjo nnyo n’okusingira ddala mu kisiibo ate akola bulungi okunoonyereza ku bintu eby’enjawulo n’okusingira ddala mu Pulogulamu ya ‘Mwasuze Mutya’ naawa abantu amawulire amatuufu.

Rashidah agamba nti Nakazibwe alina emyaka 36 nga yazaalibwa nga 8, August, 1984 era mu famire, mwana wa kubiri nga yazaalibwa omwami Shakib Ssenyonjo n’omukyala Sarah Ssenyonjo.
Mungeri y’emu agamba nti Nakazibwe ayagala nnyo ‘ lipstick’ omumyufu ate ekimufudde omukyala ow’enjawulo, yalabikidde mu vidiyo y’omuyimbi Bruno K eya Faridah.
Rashidah okuvaayo kiraga nti ddala Nakazibwe amugoberera kuba ku mwaka 12, alaga nti yakoze bulungi nnyo okunoonyereza wabula Nakazibwe alaga nti yazaalibwa nga 18, August, 1985 era alina emyaka 35.
Ebigambo bya Rashidah
