Poliisi y’e Muko mu disitulikiti y’e Rubanda ezudde emirambo gy’abaana babiri (2) abaatwaliddwa amazzi mu nkuba eyafudembye enkya y’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga ku ssaawa 3 ez’okumakya.
Entiisa yabadde ku kyalo Karengyere mu ggombolola y’e Muko e Rubanda.
Emirambo kuliko ogwa Ahimbisibwe Everist 9 ne Amanya Clao 4 nga bazaalibwa omwami Atwine Julius 45.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, wadde emirambo gikwasiddwa ab’enganda okuziikibwa, Poliisi etandiise okunoonyereza ku nfa y’abaana kuba kirabika waabaddewo balagajjavu.