Omuyimbi Winnie Nwagi akirizza nti muyimbi munne Chozen Blood muganzi we ku mitimbagano gya yintaneeti nga facebook, twitter, whatsapp n’emirala.
Ebigambo wadde byogerwa nti Nwagi ne Chozen baagalana, tewali muntu yenna alina bukakafu ku laavu yaabwe.

Nwagi agamba nti abantu okugamba nti ali mu laavu ne Chozen, y’emu ku nsonga lwaki abasajja batya okumukwana, ekimukuumidde ku mudaala gw’abanoonya.

Wabula wadde abantu boogera, Nwagi alaze nti mukyala wanjawulo nnyo era asobodde okweyambisa omukutu gwe ogwa Instagram okwagaliza mukwano gwe Chozen amazaalibwa amalungi, ” Happy quarantine birthday my dia social media husband I heard wajja nokyaala More life mukwano gwange @chozen1blood tunyumirwe Make it special“.
Ebigambo bya Nwagi alaze nti abantu balina eddembe lyabwe okwogera wabula tebasobola kumuggya ku mulamwa.
