Mu nsi yonna, ebintu by’omukwano sibyangu era abantu bayita mu kusomozebwa okwenjawulo ku nsonga za laavu.

Mu Uganda, tulina abantu ab’enjawulo abakola omulimu gwa Ssenga ne Kojja okuyambako okubangula abantu ku nsonga z’omu Kisenge era bangi kati bagagga bavundu.

Wosomera bino nga Martha Kay naye avuddeyo okuyambako ku mulimu gwa Ssenga oluvanyuma lwa mikwano gye okufuna obuzibu mu nsonga z’omukwano.

Martha agamba nti waliwo abantu nga tebafaayo ku banaabwe wabula agumizza abantu okusigala nga bagumu, tebagwamu maanyi, waliwo abantu nga bafaayo ku banaabwe mu mbeera zonna, “When someone treats you like they don’t care. Please believe them. I promise you will find someone who does-genuinely“.

Ebigambo bya Martha biraga nti omuntu yenna talina kugwamu ssuubi singa afuna omuntu omukyamu mu bulamu bwe.