Bya Nalule Aminah
Poliisi ekutte Samuel Walter Mukaaku Lubega omu ku bannayuganda abegwanyiza obwa Pulezidenti bwa Uganda.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Mukaaku yakwattiddwa mu kikwekweeto ekyakoleddwa Poliisi mu bitundu bye Mpigi.

Enanga agamba nti Mukaaku yasangiddwa mu bbaala ya Happy Boys era mu loogi mwasangibwamu abantu bataano nga bali mu kunywa mwenge ku ssaawa 5 ez’ekiro mu katawuni k’e Nabusanke e Kayabwe.
Enanga agamba nti Mukaaku yakwattiddwa ne nnanyini bbaala Genza Ssebandeke, manejja Harriet Nakayenga n’abakulembeze abalala omuli Kansala Male Samuel ne Kibirige Frank.
Mukaaku abamu bamujjukirira ku kwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2011 ate abalala bamwogerako nga munnabayabufuzi omulungi atalina mukisa gwa kuwangula kalulu mu byobufuzi.
Eddoboozi lya Enanga