Pasita Aloysius Bugingo alaze nti lwaki mu Uganda y’omu ku basajja abalina amaanyi g’ekisajja.
Pasita Bugingo musajja muzadde, alina abakyala n’abaana era musajja eyeegulidde erinnya mu ggwanga mu kubuulira enjiri ezaamu abantu essuubi.

Bwe yabadde abuulira enjiri gye buvuddeko, Pasita Bugingo agamba nti omusajja yenna okulaga nti alina amaanyi g’ekisajja, alina okulabirira obulungi famire omuli n’okutwala abaana ku masomero.

Pasita Bugingo wadde mu kiseera kino alina muwala muto Suzan Makula, alina abaana abakulu okuva mu Teddy Naluswa eyali mukyala we ng’abamu baatikirwa dda, ekiraga nti ddala kitaabwe musajja alina amaanyi g’ekisajja.

Vidiyo