Ensonga z’omugagga Brian Kirumira amanyiddwa nga Bryan White zongedde okulanda Ssentebe w’akakiiko akalondoola eddembe ly’obuntu mu Palamenti Jennifer Nantume Egunyu bw’ategezezza nti balina okumuyita okwewozaako ku bigambibwa nti aludde nga yeenyigira mu kabasanya abakyala.

Ssentebe Nantume akkatiriza nti olunnaku olw’enkya ku lw’okubiri bageenda kutuula nga akakiiko, okuloonda ttiimu kabiriiti  egenda okuyita Bryan White okwewozaako, abasirikale abagambibwa okuvuluga emisango gy’abakozi abaloopa nga bakoleddwako eby’ensonyi n’abantu bonna abalina omukono, mu bikolwa bya Bryan White ebityoboola eddembe ly’obuntu.

Mu ngeri y’emu agambye nti sseemateeka wa Uganda, takkiriza muntu yenna kutyoboola ddembe lya muntu yenna.

Nantume alabudde abasajja abegwanyiza abakyala  okubatuukirira bakaanye ku nsonga z’omu kisenge okusinga okweyambisa amaanyi.

Gyebuvuddeko Omubaka we Bugabula eyamaserengeta, Henry Maurice Kibalya yalopera Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga nti Bryan White asusse okusobya ku baana abawala omuli n’okubawamba ne batulugunyizibwa, ekiwaliriza sipiika Kadaga okulagira akakiiko ka Palamenti akalondoola eddembe ly’obuntu okunonyereza ku nsonga eyo.

Abawala abagambibwa nti Bryan White yabakozesa n’okubasindikiriza okugyamu embutto kuliko Stella Nandawula ne Matanda Vivian era ensonga zaabwe ziri wansi w’ekitongole ekya Poliisi.

Eddoboozi lya Nantume