Nnanyini Kalina eyagudde mu zzooni y’omu Kiwempe mu Divizoni y’e Makindye ku ntandikwa y’omwezi guno Ogwokutaano, aguddwako emisango 19.

Kalani bwe yagwa, yatta abantu 13 ate bana (4) abaasimatukka banyiga biwundu mu kiseera kino.

Mu kkooti y’e Makindye mu maaso g’omulamuzi Edith Mbabazi, omugagga Abraham Kalanzi myaka 31 avunaaniddwa n’eyali yinginiya w’ekizimbe Christopher Bandi Ruhambya myaka 55 emisango omuli okuzimba ekizimbe nga tebalina Pamiti, okuleeta akabenje, okuviirako abantu okufa n’okugyemera ekiragiro kya KCCA, eby’okuyimirizza okuzimba.

Emisango gyonna bagyegaanye mu maaso g’omulamuzi era nga bayita mu bannamateka baabwe  okuli Anthony Wameli ne Rodgers Muhumuza, basabye omulamuzi okubakkiriza okweyimirirwa olw’emisango egibaguddwako egibakkirizisa.

Omulamuzi akkiriza okusaba kwabwe era bonna basabiddwa akakadde kamu n’ekitundu (1,500,000) okubayimbula nga omugagga Kalanzi aleese mukyala we Flavia Nakasaga ne mukwano gwe John Paul Tumukunde okumweyimirira ate yinginiya Ruhambya aleese muganda we Edward Atugonza ne John Simbwa eyaliko omubaka wa Palamenti.

Abamu ku bakozi abasimatuka okufa olwa Kalani okugwa nga 9, May, 2020 kuliko Kenneth Mitana n’abalala okuli Umar, Kabanda ne Isma.

Balagiddwa okudda mu kkooti nga 23, June, 2020