Poliisi y’e Mpigi ekutte omusajja ku by’okusobya ku mwana omuto ali mu gy’obukulu 17 nga yamusangiriza mu nnimiro.

Katerega Mustafa myaka 30 yakwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana n’okumusiiga siriimu ku kyalo Lwanga mu ggombolola y’e Mpigi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abazadde okusirikira ensonga y’okusobya ku mwana waabwe ne badda mu kuteesa ne Katerega, y’emu ku nsonga lwaki balemeddwa okutaasa omwana obutafuna sirrimu olw’oluvanyuma lw’okusobezebwako.

Enanga agamba nti wadde Katerega akwattiddwa ku musango gw’okujjula ebitanajja n’abazadde abenyigidde mu kuteesa okumala ennaku 3, balina okubakwata.