Poliisi ewanjagidde abatuuze okubakwasizaako mu kaweefube waabwe okunoonya ssemaka eyasse mukyala we ku kyalo Kabutukulu mu ggombolola y’e Bigando mu disitulikiti y’e Masindi.

Ssemaka Musa Abdu Noor yanoonyezebwa ku by’okutta kabiite we ategerekeseeko erya Kyomukama,  omulambo nagusiba mu kadeeya nga gutemeddwa ebitundutundu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, kigambibwa Musa yatta mukyala we nga 17, May, 2020 era kigambibwa yamutuga n’amutta olw’obutakaanya awaka.

Omulambo gwazuuliddwa nga gutandise okuvunda era Poliisi etandiise okunoonya Musa ku misango gw’obutemu.

Eddoboozi lya Enanga