Abakyala balabudde abasajja obutekwasa ssaawa za Kafyu, okubalemesa okudda awaka, okusobola okudda mu bwenzi.

Okusinzira Josephine Kasaato akulira ekibiina ekigatta abakyala ekya Mothers Union mu Bulabirizi bw’e Namirembe, bangi ku basajja bayinza okweyambisa omukisa gwa Kafyu, obutaagala kudda awaka, ekintu ekiyinza okutambuza obulwadde bw’ekikaba omuli siriimu.

Kasaato akubiriza abasajja okumanya essaawa z’okutambulirako okudda awaka, okusinga okudda mu kwendekuza nga bekwasa essaawa za Kafyu okubalemesa okudda awaka.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala enkya ya leero, Kasaato  akangudde ku ddoboozi era agambye nti abakyala betaaga omukwano mu kiseera kino, okusobola okutambuza obulungi amaka.

Mungeri y’emu akubirizza abakyala okwefaako okuteekawo embeera esikiriza abasajja okudda awaka, saako n’abasajja okwongera amaanyi mu kuwaana abakyala n’okubawa ebyetagisa, okusobola okwekuumira ku mutindo.

Eddoboozi lya Kasaato