Bya Nalule Aminah

Poliisi y’ebiduuka mu Kampala erabudde okukwata ba ddereeva bonna, abanasangibwa nga bakyavuga mu ssaawa za Kafyu.

Olunnaku olw’eggulo, Poliisi yakutte emmotoka eziwerako olw’okusangibwa nga zitambula mu ssaawa za Kafyu, kyokka enkya ya leero zonna ezaakwatiddwa zikwasiddwa bannanyinizo nga basonyiyiddwa.

Kati no, Norman Musinga akulira polisi y’ebidduka mu Kampala n’emiriraano, alabudde nti olunnaku olwaleero, tewali mmotoka yonna wadde ddereeva gwe bagenda kutiira ku liiso.

Musinga mu kwogerako eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala enkya ya leero, agamba nti olunnaku olwaleero, betegese bulungi nnyo okunyweza, abagyemera essaawa za Kafyu.

Mungeri y’emu alangiridde ebiti by’abantu ab’enjawulo abalina okwesonyiwa okuvuga emmotoka omuli n’abo abatalina pamiti.

Ku nsonga ya sitiika eri emmotoka ezibadde zitambula mu kiseera nga bannansi bonna abali ku muggalo, Musinga agamba nti tebikyakola era buli akirina omuli n’ebyo ebyavudde ewa RDC, ye ssaawa okuddamu, okutambulira ku mateeka.