Omuyimbi Price Kiid alaze nti amaliridde okuvuganya mu kisaawe ky’okuyimba, bw’afulumiza ekyasi ky’oluyimba Gadda.

Kiid nga mu kiseera kino awangalira mu ggwanga erya America, wakati ng’ensi yonna eri ku muggalo olwa Kolona, akutte vidiyo okugyako abantu situleesi.

Mu vidiyo, ekyana kimutaddeko ddiifu n’okumulaga omubiri kyokka olw’okuba akyali mwana muto, abadde atidde n’okukwata ku muwala.

Kiid yazaalibwa nga 16, October, 1997 mu ggwanga erya DRC kyokka ku myaka 2 abazadde baafuna obutakaanya ne bawukana era kitaawe kwekuddukira mu Uganda, Kampala n’abaana be babiri (2) omuli ne Kiid.

Mu Uganda, Kiid yegomba abayimbi omuli Kaddo, Micheal Ross, Allan Toniks ate mu nsi z’ebweru Chris Brown n’abalala.

Vidiyo