Poliisi ekutte abantu 12 ku by’okuba munnamaggye wa UPDF ali ku ddaala lye ‘Major’ mu kiro ekikeseza olunnaku olwa leero.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga munnamaggye Maj Robert Muhasibwe yakubiddwa mu katawuni k’e Kyankwanzi mu disitulikiti y’e Kyankwanzi bwe yabadde ateeka mu nkola essaawa  za Kafyu.

Enanga agamba nti abakwate, baalumbye Maj. Muhasibwe ne bamukuba ne badduka, ng’ali mu mbeera mbi oluvanyuma lwa basirikale okuba amasasi mu bbanga.

Mu ddukaduka, omuntu omu batuuze Vicent Lukandura yattiddwa era Poliisi egamba nti abakwate 12 bagenda kubayambako okunoonyereza lwaki benyigidde mu kulumba Omusirikale n’okutwalira amateeka mu ngalo.

Kigambibwa mu bitundu bye Kyankwanzi, bangi ku batuuze benyigidde mu kutambula mu ssaawa za Kafyu era essaawa 1 ey’akawungeezi, bangi zibasaanga bakyali mu Katawuni k’e Kyankwanzi.