Poliisi ekutte abazadde abaafumbizza omwana omuto olw’okusajja munnansi wa Portugal okubawa enju ya bisenge 3 ku kyalo Busibante, Najjera mu Monicipaali y’e Kira mu disituliki y’e Wakiso.

Abakwate kuliko ssemaka Betam Ira Yoram ne mukyala we Twongirwe Josephine ku by’okufumbiza omwana myaka 16 abadde asoma eky’omukaaga ku Kiwatule Primary School.

Kigambibwa, omusajja munnansi wa Portugal, Carlos Alberto De Almeida aludde ng’asobya ku mwana waabwe era abazadde olwamukutte, yabawadde amakaage ebisenge 3 ne bamukkiriza okutwala omwana nga mukyala we.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Omwana aleese endagano eyakolebwa nga 5, Ogwokusatu, 2020 ng’abazadde bakirizza Omuzungu okutwala omwana waabwe ssaako naye okuwaayo amakaage.

Enanga agamba nti wadde Omuzungu Alberto yakwattiddwa, n’abazadde bakwattiddwa era basangiddwa nga bayingidde amaka agaabawereddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Eddoboozi lya Enanga