Ate Mpigi, Poliisi eri mukunoonya Musajjamukulu eyalimbyelimbye omuto namusobyako ku kyalo kye Butoolo-Njeru mu ggombolola y’e Kamengo.

Omwana ali mu gy’obukulu 13, yabadde atumiddwa ewa ssengaawe Nakato Christine okukima emicungwa, kwekusangayo omwana wa Kojja we Nsubuga Remegio ng’ali awaka era bwatyo yamuyingiza mu nnyumba namusobyako.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abazadde baasobodde okutegeeza ku Poliisi kyokka mu kiseera kino Nsubuga aliira ku nsiko.

Enanga agamba nti wadde Nsubuga anoonyezebwa ku musango gw’okujjula ebitanajja n’abakulembeze mu disitulikiti y’e Mpigi, balina okuyambako okulwanyisa ebikolwa eby’okudda ku baana abato okubasobyako ebyongedde mu kitundu kyabwe.