Poliisi y’e Mbale ekutte Pasita n’endiga ze 10 lwa kusangibwa nga bali ku kusaba, ekiraga nti yagyemedde ebiragiro by’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni eby’okutangira abantu okungana.

Pasita Stanly Omita owa Miracle Embassy Ministries yakwattiddwa ng’asangiddwa ku kyalo Maluku mu ggombolola y’e Kabale nga yesibidde mu nnyumba n’abantu 10 bali mu kusaba, ekintu ekiyinza okutambuza ssenyiga omukambwe Kolona.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon, Rodgers Taitika, Pasita Omita asaangiddwa mu kazigo akafunda ng’abamu ku bantu, tebalina Masiki, ekintu ekiyinza okutambuza Kolona.

Pasita Omita n’abantu 10 batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Mbale era essaawa yonna bakutwalibwa mu kkooti ku misango gy’okugezaako okutta omuntu nga bwe kyalagirwa omukulembeze w’eggwanga okuva ku ntandikwa.