Poliisi e Kyengera, ekyanoonyereza ekyasindikirizza ssemaka okutta mukyala we ku kyalo kye Bandwe, mu kiro, ky’olunnaku Olwokusatu sabiti eno nga 27.

Ssemaka Kayondo Siperito yasaangiddwa ng’amaze okutta mukyala we Nakimbugwe Magadareena myaka 30.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abatuuze baatemeza ku poliisi era weyatuukidde nga ssemaka Siperito ali mu nnyumba asiimuula musaayi.

Enanga agamba nti wadde Siperito yakwattiddwa, Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula lwaki yasse mukyala we.

Mungeri y’emu alabudde abantu okukomya okudibuuda obulamu bw’abantu abalala kuba  tebuzikawo.

Wabula abamu batuuze bagamba nti ssemaka abadde alumiriza mukyala we okwesamba ensonga z’omu kisenge era kiteeberezebwa y’emu ku nsonga lwaki yamusse.

Eddoboozi lya Enanga