Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwine alabudde nti Uganda eyolekedde akaseera akazibu, olw’abantu okugyema okuteeka mu nkola engeri z’okwetangira Kolona.

Dr. Atwine agamba nti oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga okuddamu okuta emmotoka z’obwannanyini, mu nnaku 3 abantu beyongedde mu Kampala n’okusinga mu Kikuubo, ekiyinza okutambuza obulwadde.

Webuzibidde nga Uganda erina abalwadde 317 era Dr. Atwine agamba nti olw’emputtu y’abantu, abalwadde boolekedde okweyongera, ekiyinza okuzaayo abantu ku muggalo.

Okunoonyereza kulaze nti bangi ku bantu mu Kampala bakungaana, abamu bakoowa okunaaba mu ngalo, Masiki bazitambuliza kalevu ekintu eky’obulabe.

Mungeri y’emu ne Kampuni y’amassimu eya MTN eyongedde okuvaayo okuddukirira mu kiseera kino eky’okulwanyisa Kolona.

MTN  ekwasizza Dr. Atwine  paadi 6,120, okuyamba abakyala n’abawala abali mu Kalantini abateeberezebwa okuba ne Kolona.