Kyaddaki Dr Lindah okuva mu ddwaaliro ekkulu e Mulago alaze lwaki abakyala obwagazi bweyongera nga bagenda mu nsonga z’ekikyala buli mwezi.

Dr. Lindah agamba nti mu nnaku zikulembera okugenda mu nsonga, abakazi abamu bafuna obwagazi kubanga obusimu bw’ekikazi obuyitibwa ‘estrogen’ buba bungi ddala mu mubiri.

Mungeri y’emu agamba nti wakati w’ennaku 10 ne 14 omukazi w’asuulira eggi ate obwagazi busukka kubanga ekirungo kino kiba kingi nnyo mu mubiri gwe n’emikisa mingi egy’okufuna olubuto singa aba yeegasse n’omusajja yenna kuba n’ag’emugga gaba mangi era n’ebbugumu mu mubiri ne mu bukyala liba lingi nnyo.

Dr. Lindah agamba nti omukyala yenna okugenda mu nsonga kiyamba nnyo okudda obuggya kuba singa akoma okugenda mu nsonga, atandika okukaddiwa ku sipiidi.